Lugaba mugerengetanya era wa ttendo ate wa magero mu byonna by'akola. Ekyalo bubebbere kye kyali ekimu ku ebyo Nnamugereka bye yakola. Ekyalo ekyo yakitondeka ku lubalama lwennyanja ennene eyayitibwanga Nkuute eyali eremye abantu bonna okutuuka gy'ekoma yali eremye abantu bonna okutuuka gy'ekoma yadde okugyetooloola mu biseera ebyo. Bwe wavanga ku ludda lw'ennyanja amaaso wagazzang ku kibila ggaggadde ekyetooloolera ddala Bubebbere yenna okumumalayo. Newaakubadde ng'ab'oku bubebbere baasenserera nnyo ekibira ekyo Kiwuuna, tebaasobola kukitambula kukigguka ludda. Bwe kityo bubebbere ne kiba kyalo ekyekusifu era kyesudde ennyo okuva ku bitundu by'nsi ebirala.
Abantu olw'obutasobolanga kusomoka nnyanja wadde okusomoka ekibira, kyebaava ekyalo kyabwe bakikazaako erinnya erya Bubebbere nga baliggya ku njogera egamba nti, "Kkomekkome ng'eridda e Bubebbere," sso nga okusooka baakiyitanga Nseera.
Ekyalo kyali kyali kifumbrkedde abantu eranga bakirimye okukiziguliza. Ekintu ekikulu ekyali ku Bubebbere ekitasangika ku byalo birala bye byobugagga ebingi ennyo. Waalingawo akasozi akaaliko amayinja amanene gasinziggu omwabanga ensuloez'omwenge omukaatuufu, ogwo nno tegwaggwanga omwo. Bwe wayagalanga okunywako ng'alinnyalinnya kasozi ng'omarako naye kyokka nga toleetako ka. Ensiko teyabangako lukomera nti oba wano wa gundi, wabula omuntu we yalabanga eweereere ng'alima. Kale nno abantu baakwo, naddala abaabeeranga eno ku lubalama lw'ennyanja, ne baba n'ennimiro ez;obunaayira. Ate bo abaalinga okumpi n'ekibira ne baba n'ensuku ennyimu ez'kitalo
Ku kyalo ekyali kigudde akaleka kityo kwe nnazalibwa era kwe nnakulira. Amaka ga bakadde bange gaali kumpi n'ekibira era ng'okuva ewaffe okutuuka embuga nga wali kinnya na mpindi.
Jjajjange omukazi Twalaba gwe saalabako, mbu bwe yali anaatera okufa, n'agamba kitange nti, "omwana ali munda oyo mulenzi era bw'azaalibwanga omutuumanga Munaku, lya jjajjaawe eyafiira mu lutabbalo." Bwe ntyo bwe nnatuumibwa erinnya nga nkyali munda ya nnyabo.
Mu buto bwange nnalina ab'emikwano bangi be nnazannyanga nabo naye bwe nnaegenda nga nsumuka, bangi ne njawukana nabo. Naye mu kiseera eky'obuvubuka mwe nnafunira ab'emikwano enfirabulago babiri be nneeyabizanga era bwe twesigangananga ennyo. Mukwano gwange omulenzi yayitibwanga Katali eyali mutabani wa muliraanwa waffe. Ono nno bwe twakolanga buli kantu era bwe twapekukanga ku kyalo okyalo okukyebungulula.emirundi mingi musajja wattu baamukanuliranga amaaso ewaabwe ne bamuvuma olw'okusalika kwe twasalikanga ku kyalo, nga bamugamba mbu ye yali andalusizza okuntambuza ekyalo kyonna. Sso nno bambi baamulanganga bwemage kubanga nange mu kutambulan'okugenda nga nnambula abamanyi nga ngwa matu.
Owomukwano omulala yali omuwala nyeenya muwala w'omusajja mukene. Ono nno newaakubadde nga nnayagalanga nnyo okuba naye era n'okunkyaliranga, kyali kizibu ddala okukikola olwatu olw'omuziziko omnene ogwatuli wakati ogwa kitaawe ataasalikangako musale. Okulabagana kwaffe kwabanga kwa bubba era okugenda ewabwe nga kutunda mwoyo ng;enkoko emira ensanafu.
Mukene olw'okuba omukambwe omujoozi era omuyombi, ab'oku kyalo baali bamutuumye Mbugayassalambwa, Buyembebwakkovu ne Nnabamba. Mukene yajooga basajja banne n;akamala. Yagendanga n'alumba musajja munne nasowola enjole y'essubi ku nju ye n'agisuula awo mu mulyango ne yeetambulira nga bw'agenda afuuwa engombe ye. Nga tewali ayinza kumwanganga.
Obukambwe bwe Mukene tebwakoma ku b'ebweru bboka, naye ne ku b'eka. Omusajja yalina ettama nga bw'aboggola gy'obeera nti empologoma eyimye ku lusebenju n'yana anti n'obuleku nga bubaja okuwanuka ku kibanyi okugwa wansi. Abakizi bagumiikiriza, baka mukene baali bafumbo ddala. Emirundi mingi yagendangan'batigomya n'olaba bwe babutaabutana nga balinga abaana abato mu maaso ge.
Omusajja ono yalina amateeka amkakali agaaloberanga abantu okugenda ewuwe. Etteeka eryali ekkulu ennyo ennyo, ly'erya bakazi be obutayogera na muntu yenna wadde okumubuuza nga nnyinimu tabalagidde. Omugenyi bwe yajjanga awaka, ng'abakazi batuu'a wali nga naye asirikira w'ali nga batuzza maaso ng'embwa ekubagiza. Bwe yabanga abalagidde okubuuza abantu, olwamalanga ng'abalagira nti, "Kale mugende mu gyammwe"
Omugenyi bwe yabanga ayagala okufulumako wabweru, ng'amala kutegeza nnyinimu, era ye Mukene bwe yamulabanga ng'tandise okusugaasugana, ng'amubuuza nti "oyagala kufulumako bweru?" Bwe yakkirizanga ng'amukulembera era ng'amukuuma okutuusa okudda.
Bwe mwabanga munyumya n'omala oseka ennyo akabalingo, munnange nno ng'omuggo onoobuuka nagwo n'okugenda n'ogenda nga tosiibudde. Mukene nga tayagala muntu kuseka nnyo kuwuliza bakazi be era ng'awawe tewatemerwa bulali.
Bwe mwabanga muwaya oba nga bwe munywa ne ku kabula, ng'oteekwa kutunuulira ye yekka kasita bakazi be baabangawo. Nayene kamala kakutanda n'otunuulira omu ku bakazi be, ng'omwenge gwemubadde munywa onoonaba munaabe n;eryakuleese n'oliraba lutali runo.
Mukene yalina abaana bangi naye kyokka nga bonna bawala. Bono nno yagenda n'abateekera agabwe ne babanga abali mu mbuzeekogga. Abawala tebaavanga mmanju eyo. Bwe baabanga baagala okulaba ku bantu, bannyabo nga balingiriza bulingiriza era nga bakikola bubba nnyo. Leero ekintu kye baasanyukiranga ennyo kwe kugenda emugga anti nga bwe kutuuka guba mugano. Buli omu yayagalanga agende omukisa bwe gumukwata asobole okulaba ku bantu.
Naye omukwano kitalo, newaakubadde nga waaliwo obuzibu obutagambika butyo, saterebuka n'akatono mu mukwano gwaffe ne nyeenya. Emirundi mingi nnateekanga munnange Katali mu buzibu bwe nnamugambanga okumperekerako okugenda okulaba ku Nyeenya Naye musajja wattu ne yeewangayo okumperekera okuggyako omulundi gumu gwkka lwe yanjabulira n'agaana okugenda nange, naye saamunenya.
Omuntu ye muntu tewali muntu yenna ku kyalo okwo eyalowooza nti n'awa Mukene waali wayinza okubaayo omuntu agendayo n'anyumya ne bawala be, naye Nyeenya nange twanyumizanga mu kiyungu kya Mukene ebbanga lyonna era oluusi ne mu nju ye nnatuukanga naye n'atammanya okuggyako bakazibe n'abaana bokka. Naye kino tekyandisobose singa Nyeenya teyali mugezi nnyo okunsinga. Ye olw'oku manya ennyo embeera za kitaawe yamusaliranga amagezi ag'ekitalo agansobozesanga okugenda ewaabwe n'okunyumyanga kumpi bili nze we nnafuniranga akaseera.
Okumpi n'eggwaatiro waalingawo omutubaomunene ennyo, ogwo nno bwe twagendanga mwe twekwekanga era ye Katali we yakomanga nze we nnavanga ne ngenda mu kiyungu. Nyeenya yasala bw'ati amagezi: yagenda ng'afuna olubugo olulungi ng'alukomolamu empande bbiri, olumu lwe yayambalanga, olulala n'alussa mu mulandira gw'omutuba guli. Nze bwe nnagendanga nga nneesiba okufaanana nga ye olwo ng'anzirukira nga tugenda kyere mu ffumbiro. Kyokka kye seerabiranga kwe kufuuwa aklere kange bwe nnabanga ndi kumpi okutuuka okumulabula nti nzija. Emirundi egimu Mukene yannengeranga naye nga tanjawula ne bawala be.
Mu butuufu ddala ebiseera bye nnanyumya ne Nyeenya yekka byali bitono kubanga nnyina n'abakazi abalala baka kitaawe ne baganda be nabo bambi baayagalanga nnyo okunyumya nange anti nga nzemulenzi nzekka gwe baali basobola okutuukirira. Nze nno mu ngeri eno ne njiga nnyo embeera n'ebirowoozo by'abakazi ne mbikenkuka.
Nyeenya yali mwana mwagalibwa eri ab'awaka bonna. Kino nnasinga kukikasiza ku birungi ebyankolwrwanga abantu b'omu maka ago ku lulwe. Okwagala Nyeenya kwe yanjagalamu nnalwawo nnyo okukutegeera, kubanga twayinzanga okutuula ffembi ate ffekka naye omwana ono n'atalaga n'akatono nti yali anjagala nnyo. Oluvannyoma nnakivumbula nga Nyeenya yanjagala nyo era n'angaga omwoyo omwagazi ogw'amagezi abawala gwe balina bwe baba nga bamaliride. Ebirungi Nyeenya bye yalyangako era ne bye yafunanga tewaali n'ekimu kye saafunako.
LINDA EKITUNDU KYAFFE E'KYOKU BBIRI
11 BUBEBBERE KISIGALA ETTAYO
TEGEZZA N'EMUNNO KU PAGE E'NNO A'JJE A'SSOME EBBILIKO. MW'EBARE ABANYUMYUMMILWA O'LUNGANDA.